Add parallel Print Page Options

10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
    “Golokoka, Owoomukwano,
    omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
    n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
    n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
    kuwulirwa mu nsi.
13 (A)Omutiini[a] gubala ettiini zaagwo,
    n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
    omulungi wange ojje tugende.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:13 Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo