Okubikkulirwa 11:7-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. 8 (B)Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo 9 (C)Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika. 10 (D)Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.