Add parallel Print Page Options

Oluyimba nga balinnya amadaala.

120 (A)Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku,
    era n’annyanukula.
(B)Omponye, Ayi Mukama,
    emimwa egy’obulimba,
    n’olulimi olw’obukuusa.

Onooweebwa ki,
    era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
(C)Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira,
    n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.

(D)Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki;
    nsula mu weema za Kedali!
Ndudde nnyo
    mu bantu abakyawa eddembe.
Nze njagala mirembe,
    naye bwe njogera bo baagala ntalo.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
    okubeerwa kwange kuva wa?
(E)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
    eyakola eggulu n’ensi.

Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
    oyo akukuuma taabongootenga.
Laba, oyo akuuma Isirayiri
    taabongootenga so teyeebakenga.

(F)Mukama ye mukuumi wo;
    Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
(G)emisana enjuba teekwokyenga,
    wadde omwezi ekiro.

(H)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
    anaalabiriranga obulamu bwo.
(I)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
    “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
Ebigere byaffe biyimiridde
    mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.

Yerusaalemi yazimbibwa okuba
    ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
Eyo ebika byonna gye biraga,
    ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
    ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
    z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.

(J)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
    “Abo abakwagala bafune ebirungi.
Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
    n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
Olwa baganda bange ne mikwano gyange
    nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
(K)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.