Proverbs 20
New American Standard Bible
On Life and Conduct
20 (A)Wine is a mocker, (B)intoxicating drink a brawler,
And whoever [a]is intoxicated by it is not wise.
2 The terror of a king is like the roaring of a lion;
One who provokes him to anger [b](C)forfeits his own life.
3 (D)Avoiding strife is an honor for a person,
But any fool will [c]quarrel.
4 The [d](E)lazy one does not plow after the autumn,
So he [e]begs during the harvest and has nothing.
5 A plan in the heart of a person is like deep water,
But a person of understanding draws it out.
6 Many a person (F)proclaims his own loyalty,
But who can find a (G)trustworthy person?
7 A righteous person who (H)walks in his integrity—
(I)How blessed are his sons after him.
8 (J)A king who sits on the throne of justice
[f]Disperses all evil with his eyes.
9 (K)Who can say, “I have cleansed my heart,
I am pure from my sin”?
10 [g](L)Differing weights and differing measures,
Both of them are abominable to the Lord.
11 It is by his deeds that a boy [h](M)distinguishes himself,
If his conduct is pure and right.
12 The hearing (N)ear and the seeing eye,
The Lord has made both of them.
13 (O)Do not love sleep, or you will become poor;
Open your eyes, and you will be satisfied with [i]food.
14 “Bad, bad,” says the buyer,
But when he goes his way, then he boasts.
15 There is gold, and an abundance of [j]jewels;
But lips of knowledge are a more precious thing.
16 Take his garment when he becomes guarantor for a stranger;
And for foreigners, seize a pledge from him.
17 (P)Bread obtained by a lie is sweet to a person,
But afterward his mouth will be filled with gravel.
18 Prepare (Q)plans by consultation,
And (R)make war by wise guidance.
19 One who (S)goes about as a slanderer reveals secrets;
Therefore do not associate with [k](T)a gossip.
20 He who (U)curses his father or his mother,
His (V)lamp will go out in time of darkness.
21 An inheritance gained in a hurry at the beginning
Will not be blessed in the end.
22 (W)Do not say, “I will repay evil”;
(X)Wait for the Lord, and He will save you.
23 [l](Y)Differing weights are an abomination to the Lord,
And a [m](Z)false scale is not good.
24 (AA)A man’s steps are ordained by the Lord;
How then can a person understand his way?
25 It is a trap for a person to say carelessly, “It is holy!”
And (AB)after the vows to make inquiry.
26 A (AC)wise king scatters the wicked,
And [n]drives a (AD)threshing wheel over them.
27 The [o](AE)spirit of a person is the lamp of the Lord,
Searching all the [p]innermost parts of his being.
28 [q]Loyalty and (AF)truth watch over the king,
And he upholds his throne by [r]loyalty.
29 The glory of young men is their strength,
And the [s](AG)honor of old men is their gray hair.
30 (AH)Bruising wounds clean away evil,
And blows cleanse the [t]innermost parts.
Footnotes
- Proverbs 20:1 Lit errs
- Proverbs 20:2 Lit sins against
- Proverbs 20:3 Lit burst out
- Proverbs 20:4 Lit idle
- Proverbs 20:4 Lit asks
- Proverbs 20:8 Or Sifts
- Proverbs 20:10 Lit A stone and a stone, an ephah and an ephah
- Proverbs 20:11 Or makes himself known
- Proverbs 20:13 Lit bread
- Proverbs 20:15 Or corals
- Proverbs 20:19 Lit one who opens his lips
- Proverbs 20:23 Lit A stone and a stone
- Proverbs 20:23 Lit balance of deceit
- Proverbs 20:26 Lit turns
- Proverbs 20:27 Lit breath
- Proverbs 20:27 Lit chambers of the body
- Proverbs 20:28 I.e., covenant loyalty
- Proverbs 20:28 I.e., covenant loyalty
- Proverbs 20:29 Or splendor
- Proverbs 20:30 Lit chambers of the body
Engero 20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi,
era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
2 (B)Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma,
n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
3 (C)Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,
naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
4 Omugayaavu talima mu budde butuufu,
kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
5 Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba,
naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
6 (D)Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo,
naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
7 (E)Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;
ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
8 (F)Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango,
amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
9 (G)Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange,
ndi mulongoofu era sirina kibi?”
10 (H)Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu,
byombi bya muzizo eri Mukama.
11 (I)Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,
obanga birongoofu era nga birungi.
12 (J)Okutu okuwulira n’eriiso eriraba
byombi Mukama ye y’abikola.
13 (K)Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala,
tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula;
naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri,
naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
16 (L)Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi,
kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
17 (M)Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya,
naye emufuukira amayinja mu kamwa.
18 (N)Kola entegeka nga weebuuza ku magezi,
bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
19 (O)Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama,
noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
20 (P)Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,
ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka,
ku nkomerero tebiba na mukisa.
22 (Q)Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!”
Lindirira Mukama alikuyamba.
23 (R)Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama,
ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
24 (S)Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama,
omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
25 (T)Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama,
naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
26 (U)Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi,
n’ababonereza awatali kusaasira.
27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
28 (V)Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu,
era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
29 (W)Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
envi kye kitiibwa ky’abakadde.
30 (X)Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi,
n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.
New American Standard Bible®, Copyright © 1960, 1971, 1977, 1995, 2020 by The Lockman Foundation. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
