Add parallel Print Page Options

My son, if you will receive my words
and store my commands inside you,
paying attention to wisdom
inclining your mind toward understanding —
yes, if you will call for insight
and raise your voice for discernment,
if you seek it as you would silver
and search for it as for hidden treasure —
then you will understand the fear of Adonai
and find knowledge of God.

For Adonai gives wisdom;
from his mouth comes knowledge and understanding.
He stores up common sense for the upright,
is a shield to those whose conduct is blameless,
in order to guard the courses of justice
and preserve the way of those faithful to him.
Then you will understand righteousness, justice,
fairness and every good path.
10 For wisdom will enter your heart,
knowledge will be enjoyable for you,
11 discretion will watch over you,
and discernment will guard you.

12 They will save you from the way of evil
and from those who speak deceitfully,
13 who leave the paths of honesty
to walk the ways of darkness,
14 who delight in doing evil
and take joy in being stubbornly deceitful,
15 from those whose tracks are twisted
and whose paths are perverse.

16 They will save you from a woman who is a stranger,
from a loose woman with smooth talk,
17 who abandons the ruler she had in her youth
and forgets the covenant of her God.
18 Her house is sinking toward death,
her paths lead to the dead.
19 None who go to her return;
they never regain the path to life.
20 Thus you will walk on the way of good people
and keep to the paths of the righteous.
21 For the upright will live in the land,
the pure-hearted will remain there;
22 but the wicked will be cut off from the land,
the unfaithful rooted out of it.

Empeera y’Okunoonya Amagezi

Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange,
    n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
(A)era n’ossaayo omwoyo eri amagezi,
    era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
ddala ddala singa oyaayaanira okumanya
    era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
(B)bw’onooganoonyanga nga ffeeza,
    era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
(C)awo w’olitegeerera okutya Mukama,
    era n’ovumbula okumanya Katonda.
(D)Kubanga Mukama awa amagezi;
    era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
(E)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
    era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
(F)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
    era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
    weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (G)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
    n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
11 (H)Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga
    n’okutegeera kunaakukuumanga:

12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi,
    n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
13 (I)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
    ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
14 (J)abasanyukira okukola ebikolwa ebibi,
    abanyumirwa eby’obusirusiru,
15 (K)abantu abo be b’amakubo amakyamu,
    era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.

16 (L)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
    n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (M)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
    era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (N)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
    n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (O)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
    wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda
    era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
21 (P)Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi,
    era abo abagolokofu baligisigalamu.
22 (Q)Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi,
    n’abatali beesigwa balizikirizibwa.