Add parallel Print Page Options

(A)wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
    era n’azaalibwa ng’omuntu,
    era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,
(B)ne yeetoowaza,
    n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
    ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

(C)Katonda kyeyava amugulumiza,
    n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;
10 (D)buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
    era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11 (E)era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
    Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Read full chapter