Add parallel Print Page Options

(A)Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?
Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala,
    agasibwa ki?
(B)Amaaso kye galaba
    kisinga olufulube lw’ebirowoozo.
Era na kino nakyo butaliimu,
    na kugoberera mpewo.

10 Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,
    n’omuntu kyali kyamanyibwa,
tewali muntu ayinza kulwana n’oyo amusinza amaanyi,
    n’amusobola.

Read full chapter