Oluyimba 8:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,
era ng’akabonero ku mukono gwo,
kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,
obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.
Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,
omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.
7 (B)Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Abemikwano
8 Tulina muto waffe
atannamera mabeere,
naye tulikola tutya
bw’alituuka okwogerezebwa?
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.