Add parallel Print Page Options

Omwagalwa

(A)Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,
    mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,
okulabirira ennimiro ye
    n’okunoga amalanga.
(B)Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;
    anoonyeza mu malanga.

Owoomukwano

(C)Oli mubalagavu nga Tiruza,[a]
    omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,
    era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:4 Tiruza kyali kibuga kya dda mu Kanani ekyalondebwa Yerobowaamu mu 930-909 bc okuba ekibuga ekikulu eky’Obwakabaka bw’omu Bukiikakkono