Oluyimba 4:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya,
nga ziva okunaazibwa.
Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,
so tewali eri yokka.
3 (B)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[a]
4 (C)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
Footnotes
- 4:3 Amakomamawanga mamyufu
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.