Add parallel Print Page Options

(A)Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi,
    ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kwesiimidde.

(B)Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu,
    afaanana ng’empagi ey’omukka,
asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu,
    okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
(C)Laba, kye kigaali kya Sulemaani,
    ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga,
    abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,

Read full chapter