Add parallel Print Page Options

(A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
    ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kweyagalidde.

(B)Wuliriza omwagalwa wange,
    Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
    ng’azinira ku busozi.
(C)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
    Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
    alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.

Read full chapter