Add parallel Print Page Options

15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
    nga n’ensi esanyusa;
n’alyoka akkakkanya ekibegabega kye okusitula,
    n’afuuka omuddu ow’okukozesebwanga emirimu egy’obuwaze.

16 (A)Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
    ng’ekika ekimu ku bika bya Isirayiri.
17 (B)Ddaani anaaba musota mu kkubo,
    essalambwa ku kkubo,
eriruma ebisinziiro by’embalaasi,
    omwebagazi waayo alyoke agwe emabega waayo.

Read full chapter