Olubereberye 48:8-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”
9 (A)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”
N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”
10 (B)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.
11 (C)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”
12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (D)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (E)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
15 (F)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,
“Katonda wa jjajjange
Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
okutuusa leero,
16 (G)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
mu maaso g’ensi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.