Add parallel Print Page Options

38 (A)Falaawo n’agamba abaweereza be nti, “Tuyinza okufuna omuntu ng’ono Yusufu omuli Omwoyo wa Katonda?”

Read full chapter

25 (A)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.

26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”

28 (B)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”

29 (C)Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!”

Read full chapter

23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter

(A)Yoswa, mutabani wa Nuuni, yali ajjudde omwoyo ogw’amagezi, kubanga Musa yali yamuteekako emikono gye. Abaana ba Isirayiri ne bamuwulira, ne bakola nga Mukama Katonda bwe yali alagidde Musa.

Read full chapter