A A A A A
Bible Book List

Olubereberye 40 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Yusufu Annyonnyola Ebirooto

40 Oluvannyuma lw’ebyo omusenero wa kabaka w’e Misiri wamu n’omukulu wa bafumbi be ne banyiiza mukama waabwe kabaka w’e Misiri. Falaawo n’asunguwalira nnyo abakungu be abo: omusenero n’omukulu w’abafumbi, n’abawaayo mu mikono gy’omukulu w’ekkomera, Yusufu mwe yali. Omukulu w’ekkomera n’abawa Yusufu okubakuuma, n’abalabirira, ne babeera mu kkomera.

Naye ekiro kimu omusenero n’omukulu wa bafumbi aba kabaka w’e Misiri abaali mu kkomera ne baloota, buli omu ekirooto kye, era nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. Yusufu bwe yajja gye bali ku makya, n’abalaba nga beeraliikirivu. N’alyoka abuuza abakungu ba Falaawo abaali naye mu kkomera, mu nnyumba ya mukama waabwe nti, “Lwaki leero mulabika nga mweraliikiridde?”

Ne bamuddamu nti, “Twaloose ebirooto, naye tewali wa kubivvuunula.” Awo Yusufu n’abagamba nti, “Katonda y’abivvuunula. Kale mbasaba mubimbuulire.”

Awo omusenero n’ategeeza Yusufu ekirooto kye n’agamba nti, “Nalabye omuti omutiini mu kirooto. 10 Ku mutiini nga kuliko amatabi asatu, gwabadde gwakatojjera ne gumulisa, ebirimba ne bibaako zabbibu ennyengevu. 11 Nga nkute ekikopo kya Falaawo mu ngalo zange, ne nzirira zabbibu ne nzikamulira mu kikopo kya Falaawo, ne nkimukwasa.”

12 Yusufu n’alyoka amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu, ze nnaku esatu; 13 mu nnaku ssatu Falaawo alikuggya mu kkomera n’akuzza mu kifo kyo, era olimukwasa ekikopo nga bwe wakolanga edda ng’oli musenero we. 14 Kyokka onzijukiranga ng’otuuse mu maaso ga Falaawo, onzijukiranga n’onjogerako gy’ali nkwegayiridde, alyoke anzigye mu kkomera. 15 Kubanga ddala naggyibwa buggyibwa mu nsi y’Abaebulaniya; ate na wano sirina kye nakola kinsaanyiza kuteekebwa mu kkomera.”

Ekirooto ky’Omukulu wa Bafumbi

16 Omukulu w’abafumbi ba Falaawo bwe yalaba ng’amakulu g’ekirooto ky’oli gaali malungi, n’agamba Yusufu nti, “Nange naloose ekirooto: nga neetisse ku mutwe ebibbo by’emigaati bisatu. 17 Mu kibbo ekyokusatu mwabaddemu buli ngeri ya mmere enjokye eya Falaawo. Kyokka ng’ennyonyi zigiriira ku mutwe gwange.”

18 Awo Yusufu n’amuddamu nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu z’ennaku ssatu; 19 bwe wanaayitawo ennaku ssatu Falaawo ajja kukutemako omutwe, akuwanike ku muti, omulambo gwo guliibwe ebinyonyi.” 20 Ku lunaku olwokusatu, lwali lunaku lwa mazaalibwa ga Falaawo, n’akolera abaweereza be bonna embaga, n’atumya omusenero n’omukulu w’abafumbi. 21 Omusenero n’amuzza ku mulimu gwe, n’atandika okuweereza Falaawo, 22 kyokka ye omukulu w’abafumbi n’amuwanika ku muti, nga Yusufu bwe yavvuunula ebirooto byabwe.

23 Naye omusenero n’atajjukira Yusufu n’amwerabira n’atamussaako mwoyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes