Add parallel Print Page Options

(A)Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”

Kayini atta Aberi

(B)Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.

Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”

N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”

Read full chapter