Add parallel Print Page Options

Naye ye Esawu n’amugamba nti, “Bye nnina bimmala, muganda wange, by’olina beera nabyo.” 10 (A)Yakobo n’amuddamu nti, “Nedda nkwegayiridde, obanga nfunye okusaasirwa mu maaso go, kale kkiriza ekirabo kyange ekivudde mu ngalo zange. Kubanga ddala okulaba ku maaso go kiri ng’okulaba amaaso ga Katonda, olw’ekisa ekyo ky’onnyaniririzzaamu. 11 (B)Nkwegayiridde kkiriza ekirabo kyange ekikuleeteddwa, kubanga Katonda andaze ekisa kye, era siri mu bwetaavu.” Bw’atyo Esawu n’akikkiriza.

Read full chapter