Add parallel Print Page Options

19 (A)Ekifo ekyo n’akituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.

Read full chapter

27 (A)Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro. 28 (B)Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.

Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo. 29 (C)Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali. 30 (D)Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa. 31 (E)Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.

Read full chapter