Add parallel Print Page Options

15 (A)Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”

Read full chapter

21 (A)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo.

Read full chapter

(A)Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi.

Read full chapter

50 (A)Awo Yusufu n’agwa mu maaso ga kitaawe n’akaaba, n’amunywegera.

Read full chapter

24 (A)Yusufu n’agamba baganda be nti, “Nnaatera okufa, naye Katonda alibakyalira n’abalinnyisa okubaggya mu nsi eno; n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.”

Read full chapter