Olubereberye 25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula. 2 (A)Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. 3 Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu. 4 Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula.
5 (B)Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina. 6 (C)Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka.
Okufa kwa Ibulayimu
7 Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 8 (D)Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi. 9 (E)Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; 10 (F)ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we. 11 (G)Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi.
Abaana ba Isimayiri
12 (H)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala.
13 Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, 15 ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. 16 (I)Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye. 17 (J)Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe. 18 (K)Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe.
Okuzaalibwa kwa Yakobo ne Esawu
19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu.
Ibulayimu yazaala Isaaka. 20 (L)Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani.
21 (M)Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 (N)Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku Mukama.
23 (O)Mukama n’amuddamu nti,
“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,
abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,
omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,
era omukulu yaaliweereza omuto.”
24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 25 (P)Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 26 (Q)Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo.
Esawu Atunda eby’Obukulu Bwe
27 (R)Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 (S)Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo.
29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu.
31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.”
32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?”
33 (T)Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe.
34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.
Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
Genesis 25
Holman Christian Standard Bible
Abraham’s Other Wife and Sons
25 Now Abraham had taken another wife, whose name was Keturah,(A) 2 and she bore him Zimran, Jokshan, Medan, Midian, Ishbak, and Shuah. 3 Jokshan fathered Sheba and Dedan. Dedan’s sons were the Asshurim, Letushim, and Leummim. 4 And Midian’s sons were Ephah, Epher, Hanoch, Abida, and Eldaah. All these were sons of Keturah. 5 Abraham gave everything he owned to Isaac.(B) 6 And Abraham gave gifts to the sons of his concubines, but while he was still alive he sent them eastward, away from his son Isaac, to the land of the East.(C)
Abraham’s Death
7 This is the length of Abraham’s life:[a] 175 years. 8 He took his last breath and died at a ripe old age,(D) old and contented,[b] and he was gathered to his people.(E) 9 His sons Isaac and Ishmael buried him in the cave of Machpelah(F) near Mamre, in the field of Ephron son of Zohar the Hittite. 10 This was the field that Abraham bought from the Hittites.(G) Abraham was buried there with his wife Sarah. 11 After Abraham’s death, God blessed his son Isaac, who lived near Beer-lahai-roi.(H)
Ishmael’s Family Records
12 These are the family records(I) of Abraham’s son Ishmael,(J) whom Hagar the Egyptian, Sarah’s slave, bore to Abraham. 13 These are the names of Ishmael’s sons; their names according to the family records are: Nebaioth, Ishmael’s firstborn, then Kedar, Adbeel, Mibsam, 14 Mishma, Dumah, Massa, 15 Hadad, Tema, Jetur, Naphish, and Kedemah. 16 These are Ishmael’s sons, and these are their names by their villages and encampments: 12 leaders[c](K) of their clans.[d] 17 This is the length[e] of Ishmael’s life: 137 years. He took his last breath and died, and was gathered to his people. 18 And they[f] settled from Havilah to Shur, which is opposite Egypt as you go toward Asshur. He[g] lived in opposition to[h] all his brothers.(L)
The Birth of Jacob and Esau
19 These are the family records of Isaac son of Abraham. Abraham fathered Isaac.(M) 20 Isaac was 40 years old when he took as his wife Rebekah(N) daughter of Bethuel the Aramean from Paddan-aram(O) and sister of Laban the Aramean.(P) 21 Isaac prayed to the Lord on behalf of his wife because she was childless.(Q) The Lord heard his prayer, and his wife Rebekah conceived.(R) 22 But the children inside her struggled with each other, and she said, “Why is this happening to me?”[i] So she went to inquire of the Lord.(S) 23 And the Lord said to her:
Two nations are in your womb;
two people will come from you and be separated.
One people will be stronger than the other,(T)
and the older will serve the younger.(U)
24 When her time came to give birth, there were indeed twins in her womb. 25 The first one came out red-looking,[j] covered with hair[k] like a fur coat, and they named him Esau.(V) 26 After this, his brother came out grasping Esau’s heel with his hand.(W) So he was named Jacob.[l](X) Isaac was 60 years old when they were born.
Esau Sells His Birthright
27 When the boys grew up, Esau became an expert hunter, an outdoorsman,[m] but Jacob was a quiet man who stayed at home.[n] 28 Isaac loved Esau because he had a taste for wild game, but Rebekah loved Jacob.(Y)
29 Once when Jacob was cooking a stew, Esau came in from the field exhausted. 30 He said to Jacob, “Let me eat some of that red stuff, because I’m exhausted.” That is why he was also named Edom.[o]
31 Jacob replied, “First sell me your birthright.”
32 “Look,” said Esau, “I’m about to die, so what good is a birthright to me?”
33 Jacob said, “Swear to me first.” So he swore to Jacob and sold his birthright to him. 34 Then Jacob gave bread and lentil stew to Esau; he ate, drank, got up, and went away. So Esau despised his birthright.(Z)
Footnotes
- Genesis 25:7 Lit And these are the days of the years of the lives of Abraham that he lived
- Genesis 25:8 Sam, LXX, Syr read full of days
- Genesis 25:16 Or chieftains
- Genesis 25:16 Or peoples
- Genesis 25:17 Lit And these are the years
- Genesis 25:18 LXX, Vg read he
- Genesis 25:18 = Ishmael and his descendants
- Genesis 25:18 Or He settled down alongside of
- Genesis 25:22 Lit If thus, why this I
- Genesis 25:25 In Hb, the word red-looking sounds like “Edom”; Gn 32:3.
- Genesis 25:25 In Hb, the word hair sounds like “Seir”; Gn 32:3.
- Genesis 25:26 = He Grasps the Heel
- Genesis 25:27 Lit a man of the field
- Genesis 25:27 Lit man living in tents
- Genesis 25:30 = Red
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Copyright © 1999, 2000, 2002, 2003, 2009 by Holman Bible Publishers, Nashville Tennessee. All rights reserved.