Add parallel Print Page Options

(A)Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti,

Read full chapter

(A)n’agamba nti, “Bakama bange mukyame mu nnyumba y’omuddu wammwe munaabe ku bigere, mbegayiridde n’okusula musule. Munaazuukuka mangu ku makya ne mukwata ekkubo lyammwe.”

Ne bagamba nti, “Nedda tunaasula mu luguudo.”

Read full chapter

24 (A)Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze n’okunaaba ebigere, ng’amaze n’okuliisa endogoyi zaabwe,

Read full chapter

21 (A)Awo n’abatwala mu nnyumba ye, n’aliisa endogoyi ze, ne banaaba ku bigere[a], ne balya, ne banywa.

Read full chapter

Footnotes

  1. 19:21 Okunaaza ebigere by’omugenyi kyali kikolwa kya kwaniriza, kubanga abantu mu bitundu ebyo baatambuliranga mu sapatu mu nguudo ezirimu enfuufu.

n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato, (A)n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.

Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”

(B)Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”

Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”

Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”

10 (C)Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.” 11 Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”

12 Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde? 13 (D)Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi. 14 (E)Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere.

Read full chapter

10 (A)nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.

Read full chapter