Add parallel Print Page Options

Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri

(A)Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”

Read full chapter

16 (A)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’

Read full chapter

(A)Ebibereberye mu nsi y’e Misiri bijja kufa, okutandikira ku mubereberye wa Falaawo agenda okumusikira, okutuukira ddala ku mubereberye[a] w’omuwala omuzaana asa ku lubengo; era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:5 Mu bitundu ebyo, omwana owoobulenzi nga ye mubereberye yali wa muwendo nnyo eri ennyumba gy’avaamu.

12 (A)“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama.

Read full chapter

Ebibereberye Bittibwa

29 (A)Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna.

Read full chapter