Add parallel Print Page Options

(A)“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu. 10 (B)Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11 Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.

Read full chapter