Add parallel Print Page Options

22 (A)Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna Mukama bye yalagira Musa; 23 (B)baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. 24 (C)Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri Mukama, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.

Read full chapter