Add parallel Print Page Options

Awo Musa n’awa ekiragiro ne kibunyisibwa mu lusiisira lwonna nti, “Tewabaawo musajja oba mukazi ayongera okuleeta ekiweebwayo olw’omulimu gw’Eweema ya Mukama.” Bwe batyo abantu ne bagaanibwa okwongera okuwaayo; (A)kubanga ebyo abakozi bye baalina byali bimala omulimu ogwo era n’okufikkawo.

Eweema ya Mukama Ekolebwa

Awo bannakinku bonna mu basajja abakozi ne bakola eweema ya Mukama n’emitanda kkumi egya linena omunyoole omulungi ennyo, nga mulimu n’ebya bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne bakerubi nga batungiddwamu n’amagezi mangi.

Read full chapter