Add parallel Print Page Options

(A)Era buli Musa lwe yafulumanga n’alaga eri Eweema, abantu bonna nga bayimirira mu miryango gy’eweema zaabwe ne batunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema. (B)Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey’ekire n’ekka n’eyimirira mu mulyango gw’Eweema; Mukama n’alyoka ayogera ne Musa. 10 Abantu bwe baalabanga ng’empagi ey’ekire eyimiridde mu mulyango gw’Eweema, bonna ne basituka ne basinza, buli omu mu mulyango gw’eweema ye.

Read full chapter