Add parallel Print Page Options

(A)Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”

(B)Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.” (C)Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.

Read full chapter

19 (A)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.

Read full chapter

20 (A)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.

Read full chapter

20 (A)Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula.

Read full chapter