Okuva 27:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Kola ebbakuli omunaayoolerwanga evvu lyakyo, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni; ebyo byonna nga bikolebwa mu kikomo.
Read full chapter
1 Bassekabaka 7:47-50
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
47 (A)Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obw’ekikomo ebintu mwe byakolebwa.
48 (B)Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama:
ekyoto ekya zaabu;
emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;
49 (C)ebikondo by’ettaala[a] ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera;
obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
50 (D)bbensani, ne makansi ezisala ebisirinza, ne bbakuli ezifukirira, n’ebibya ne fulampeni, nga bya zaabu ennongoose;
eminyolo gy’enzigi egy’ekisenge eky’omunda ddala, kye Kifo Ekitukuvu Ennyo nga gya zaabu, n’egy’enzigi ez’ekisenge ekinene ddala ekya yeekaalu nga gya zaabu.
Footnotes
- 7:49 Mu Weema ya Mukama mwalimu ekikondo ky’ettaala kimu kyokka nga kirina amatabi musanvu, (Kuv 25:31-40; 26:35). Mu kifo kyayo, Sulemaani yassaawo ebikondo kkumi eby’ettaala
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.