Add parallel Print Page Options

16 (A)“Onookolanga Embaga ey’Amakungula[a] ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo.

“Onookolanga Embaga ey’Amayingiza[b] buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.

Read full chapter

Footnotes

  1. 23:16 Embaga ey’Amakungula y’emu yeeyitibwa Embaga eya Wiiki (34:22) kubanga Embaga ey’Amakungula yabangawo oluvannyuma lw’Embaga ey’Okuyitako, ng’okukungula kwa kaggwa
  2. 23:16 Embaga ey’Amayingiza yabangawo ng’okukungula kwa kaggwa.

19 (A)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 23:19 Okufumba akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako yali mpisa y’Abakanani

26 (A)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.

“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”

Read full chapter