Okuva 20:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.
Okuva 31:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.
Read full chapter
Isaaya 56:2-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3 (B)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
“Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
“Ndi muti mukalu.”
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
5 (C)amannya gaabwe galijjukirwa
mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
ery’emirembe n’emirembe.
6 (D)N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,
okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama
era n’okubeera abaweereza be,
abakwata ssabbiiti
ne batagyonoona
era ne banyweza endagaano yange,
Ezeekyeri 20:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne mbawa ne Ssabbiiti zange ng’akabonero wakati wange nabo, bategeere nga nze Mukama abatukuza.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.