Add parallel Print Page Options

Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. (A)Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.

(B)Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”

Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”

Read full chapter