Add parallel Print Page Options

25 (A)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.

Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (B)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”

27 (C)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.

Read full chapter