Add parallel Print Page Options

23 (A)Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.

24 “Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25 Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno.

Read full chapter