Add parallel Print Page Options

(A)Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?”

Read full chapter

15 (A)Awo ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko. Bwe kitaabe bwe kityo tujja kukwokya omuliro ggwe n’ennyumba ya kitaawo. Mwatuyita kutunyaga, si bwe kiri?”

Read full chapter

16 (A)Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi,
    n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
17 (B)eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe
    era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
18 (C)Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa,
    n’amakubo ge galaga eri abafu.
19 (D)Tewali n’omu agenda ewuwe adda
    wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.

Read full chapter

(A)Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,
    n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
(B)naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa
    era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
(C)Ebigere bye bituuka mu kufa,
    ebisinde bye biraga emagombe.

Read full chapter

23     (A)okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
    so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.

Read full chapter

14 (A)Malaaya mutego gwa kabi,
    akolimiddwa Mukama mw’afiira.

Read full chapter