Add parallel Print Page Options

13 (A)Olimenyaamenya ebyoto byabwe, obetente empagi zaabwe, n’otemaatema ebifaananyi byabwe ebibajje bye basinza.

Read full chapter

(A)Naye bwe muti bwe munaakolanga: Munaamenyanga ebyoto bya bakatonda baabwe, ne mwasaayasa amayinja gaabwe ge bawonga, ne mubetentabetenta empagi zaabwe eza Asera, ne mwokya bakatonda baabwe mu muliro.

Read full chapter

12 (A)N’agoba mu nsi abaalyanga ebisiyaga, era n’aggyawo n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono byonna bajjajjaabe bye baakola. 13 (B)Era n’agoba ne jjajjaawe Maaka ku bwa namasole kubanga yali akoze empagi ya Asera. Asa n’agitema era n’agyokera ku kagga Kidulooni. 14 (C)Newaakubadde nga teyaggyawo bifo bigulumivu, omutima gwe gwali ku Mukama ennaku ze zonna.

Read full chapter