Add parallel Print Page Options

19 (A)ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”

Read full chapter

23 Bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza, ate ng’olusozi lwaka omuliro, ne musembera gye ndi, n’abakulembeze bonna ab’ebika byammwe, n’abakulu bammwe bonna. 24 (A)Ne mugamba nti, “Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n’obukulu bwe, era n’eddoboozi lye ne tuliwulira nga lifuluma wakati mu muliro. 25 (B)Kale, kaakano tufiira ki? Kubanga omuliro guno omungi bwe guti gujja kutusaanyaawo, tufe tuggweewo, singa twongera okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda waffe. 26 (C)Kubanga, ani mu bantu omuntu eyali awulidde ku ddoboozi lya Katonda omulamu ng’ayogerera wakati mu muliro, nga ffe bwe tuliwulidde, n’asigala ng’akyali mulamu? 27 Ggwe, musemberere, owulirize bulungi byonna Mukama Katonda waffe by’anaayogera. Olyoke otubuulire ebyo byonna Mukama Katonda waffe by’anaakugamba. Tujja kubiwuliriza era tubigondere.”

Read full chapter