Add parallel Print Page Options

(A)Obusungu bwa Mukama nga bubuubuukidde ku Muwala wa Sayuuni
    ne bumussa wansi w’ekire!
Ekitiibwa kya Isirayiri, Mukama akissizza wansi
    okuva mu ggulu okutuuka ku nsi;
ne yeerabira entebe ey’ebigere bye
    ku lunaku lwe yasunguwalirako.

(B)Mukama azikirizza
    abatuula mu Yakobo bonna awatali kubasaasira;
mu busungu bwe amenye
    ebigo eby’amaanyi eby’omuwala wa Yuda;
assizza wansi obwakabaka bwe n’abakungu be
    n’abamalamu ekitiibwa.

(C)Mu busungu obungi
    amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza;
bw’alabye omulabe ng’asembera,
    n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo;
anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro
    bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.

(D)Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe,
    era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu.
Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso
    mu weema ey’omuwala wa Sayuuni,
okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze;
    obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.

(E)Mukama afuuse ng’omulabe;
    azikirizza Isirayiri,
n’azikiriza embiri ze,
    n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi.
Aleetedde muwala wa Yuda
    okweyongera okukaaba n’okukungubaga.

(F)Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro,
    era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu.
Mukama yeerabizza Sayuuni
    embaga ze entukuvu ne ssabbiiti,
era mu busungu bwe obungi
    anyoomye kabaka ne kabona.

(G)Mukama atamiddwa ekyoto kye,
    n’alekulira n’ekifo kye ekitukuvu.
Awaddeyo bbugwe w’embiri ze eri omulabe;
    era baleekaanidde mu nnyumba ya Mukama,
ne baleetamu oluyoogaano
    nga ku lunaku olw’embaga entukuvu.

(H)Mukama yamalirira okumenya
    bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni,
n’agolola omuguwa ogupima,
    Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza.
Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga,
    byonna ne biggweerera.

(I)Emiryango gye gisse mu ttaka,
    n’emitayimbwa gyagyo agimenye n’agyonoona.
Kabaka we n’abakungu be baawaŋŋangusizibwa,
    eteri mateeka gaabwe agabafuga,
era ne bannabbi be tebakyafuna
    kwolesebwa kuva eri Mukama.

10 (J)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
    batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
    era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
    bakotese emitwe gyabwe.

11 (K)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
    n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
    olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
    wakati mu nguudo ez’omu kibuga.

12 (L)Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti,
    “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?”
nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu
    mu nguudo ez’ekibuga,
nga bwe bakaabira
    mu bifuba bya bannyaabwe.

13 (M)Nnyinza kugamba ki,
    era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako
    ggwe Omuwala wa Yerusaalemi?
Kiki kye nnyinza okukufaananya,
    okukusanyusa ggwe
    Omuwala Embeerera owa Sayuuni?
Ekiwundu kyo kinene nnyo,
    kale ani ayinza okukiwonya?

14 (N)Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna,
    kwali kwa bulimba era kwa butaliimu;
tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo
    okukuwonya obusibe.
Engero ze baabanyumizanga
    zaali za bulimba era eziwabya.

15 (O)Bonna abayitawo
    babakubira mu ngalo
ne bafuuwa empa ne banyeenyeza
    omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti,
“Kino kye kibuga ekyayitibwanga
    ekituukiridde,
    era essanyu ly’ensi zonna?”

16 (P)Abalabe bo bonna
    baasaamiridde nga beewuunya;
nga bafuuwa empa, era baluma amannyo
    nga boogera nti, “Tumuzikirizza.
Luno lwe lunaku lwe twalindirira,
    kaakano lutuukiridde, era tululabye.”

17 (Q)Mukama akoze kye yateekateeka,
    era atuukirizza ekigambo kye
    kye yalagira mu nnaku ez’edda.
Akuzikirizza awatali kukusaasira,
    aleetedde omulabe wo okukusekerera,
    n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.

18 (R)Kaabirira Mukama
    n’eddoboozi ery’omwanguka
ggwe Omuwala wa Sayuuni.
    Leka amaziga go gakulukute ng’omugga
    emisana n’ekiro.
Teweewummuza so toganya
    maaso go kuwummula.

19 (S)Golokoka, okaabe ekiro
    obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
    mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
    olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
    mu buli luguudo.

20 (T)“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire!
    Ani gwe wali obonerezza bw’otyo?
Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe,
    abaana be bakuzizza?
Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe
    mu watukuvu wa Mukama?

21 (U)“Abato n’abakulu bonna bafiiridde wamu
    mu nfuufu ey’enguudo;
abavubuka bange ne bawala bange
    battiddwa n’ekitala;
obattidde ku lunaku olw’obusungu bwo,
    era obasse awatali kusaasira.

22 (V)“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga,
    bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna;
era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama,
    tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo;
abo be nalabirira ne nkuza,
    omulabe wange be yazikiriza.”