Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

20 (A)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

Read full chapter

(A)Naye obutali butuukirivu bwammwe
    bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
    n’atawulira.
(B)Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
    n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
    n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
(C)Tewali awaaba bya nsonga
    so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
    ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
(D)Baalula amagi ag’essalambwa
    ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
    n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
(E)Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
    ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
    Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
(F)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
    era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
    n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
(G)Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi
    wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
    tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

(H)Amazima gatuli wala,
    n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
    we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (I)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
    ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
    ne tuba ng’abafu.
11 (J)Ffenna tuwuluguma ng’eddubu
    ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
    n’obulokozi butuliwala.
12 (K)Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
    era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
    era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 (L)obujeemu n’enkwe eri Mukama
    era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
    okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.

Read full chapter

22 (A)Era bwe weebuuza nti,
    “Lwaki kino kintuseeko?”
Olw’ebibi byo ebingi
    engoye zo kyezivudde ziyuzibwa,
    era omubiri gwo ne gubonerezebwa.

Read full chapter

26 (A)Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
    obwereere bwammwe ne bulabika.

Read full chapter