Okukungubaga 1:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“Kyenva nkaaba,
amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
kubanga omulabe awangudde.”
Okukungubaga 3:48-51
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amaziga
olw’okuzikirira kw’abantu bange.
49 (B)Era amaaso gange ganeeyongeranga okukulukuta amaziga
awatali kusirika,
50 (C)okutuusa Mukama lw’alisinzira
mu ggulu n’alaba.
51 Bye ndaba bireeta ennaku ku mutima gwange,
olw’ebyo ebyatuuka ku bawala b’ekibuga kyange.
Okukungubaga 1:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
Okukungubaga 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Golokoka, okaabe ekiro
obudde nga bwa kaziba;
Fuka emmeeme yo ng’amazzi
mu maaso ga Mukama.
Yimusa emikono gyo gy’ali,
olw’obulamu bw’abaana bo abato
abazirise olw’enjala
mu buli luguudo.
Zabbuli 22:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ngiyiddwa ng’amazzi,
n’amagumba gange gasowose mu nnyingo zaago.
Omutima gwange guli ng’obubaane,
era gusaanuukidde mu mubiri gwange.
Okukungubaga 4:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Olw’ennyonta omwana ayonka gy’alina,
olulimi lwe lukwatira ku kibuno ky’akamwa ke;
abaana basaba emmere
naye tewali n’omu agibawa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.