Add parallel Print Page Options

15 (A)“Mukama anyoomye
    abalwanyi abazira bonna abaali nange;
akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,
    okuzikiriza abavubuka bange.
Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,
    ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.

16 (B)“Kyenva nkaaba,
    amaaso gange ne gajjula amaziga,
kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,
    ayinza okunzizaamu amaanyi.
Abaana bange banakuwavu
    kubanga omulabe awangudde.”

17 (C)Sayuuni agolola emikono gye,
    naye tewali n’omu amudduukirira.
Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo
    baliraanwa be babeere balabe be;
Yerusaalemi afuuse
    ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.

Read full chapter