Add parallel Print Page Options

14 (A)Ne nziramu nti. “Mukama wange, gw’omanyi.”

N’aŋŋamba nti, “Bano be baayita mu kubonaabona okunene, ne bayoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga. 15 (B)Kyebavudde

“babeera wano mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda
    nga bamusinza emisana n’ekiro mu Yeekaalu ye.
Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka,
    anaaberanga nabo ng’abalabirira.
16 (C)Tebaliddayo kulumwa njala
    wadde ennyonta,
newaakubadde omusana okubookya
    wadde ekyokya ekirala kyonna;

Read full chapter