Add parallel Print Page Options

(A)Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.”

(B)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” (C)Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.

Read full chapter