Add parallel Print Page Options

(A)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” (B)Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.

(C)Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe.

Read full chapter