Add parallel Print Page Options

(A)Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”

Read full chapter

14 (A)Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona.

Read full chapter

(A)Ne malayika omulala owookusatu n’abagoberera ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omuntu yenna anaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, era anakkiriza okuteeka akabonero kaakyo ku kyenyi kye oba ku mukono gwe ogwa ddyo,

Read full chapter

11 (A)Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo.

Read full chapter

(A)Ne bayimba oluyimba olwali ng’oluyimba oluggya olulungi ennyo mu maaso g’entebe ey’obwakabaka eya Katonda ne mu maaso g’ebiramu ebina n’abakadde. Ne wataba muntu n’omu eyasobola okuyiga oluyimba olwo okuggyako abo emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi ennya, abaanunulibwa okuva mu nsi.

Read full chapter