Add parallel Print Page Options

Ekkondeere ery’Omusanvu

15 (A)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
    bwa Mukama waffe ne Kristo we,
    era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

16 (B)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (C)nga bagamba nti,

“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
    Era ofuga.

Read full chapter