Okubikkulirwa 11:14-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.
Ekkondeere ery’Omusanvu
15 (B)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,
“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
bwa Mukama waffe ne Kristo we,
era anaafuganga emirembe n’emirembe.”
16 (C)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.