A A A A A
Bible Book List

Okubala 35 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Ebibuga by’Abaleevi

35 Awo abaana ba Isirayiri bwe baali nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani, okwolekera Yeriko, Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo. Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.

“Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano. Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga.

Ebibuga eby’Okuddukirangamu

“Ku bibuga bye muligabira Abaleevi kugenda kubeerako ebibuga mukaaga eby’okuddukirangamu, omuntu asse omuntu nga tagenderedde. Okwo mulyoke mwongereko ebibuga amakumi ana mu bibiri. Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro. Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”

Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 10 “Yogera eri abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe musomokanga omugga Yoludaani ne muyingira mu nsi y’e Kanani, 11 mweronderangamu ebibuga ebinaabanga ebibuga byammwe eby’okuddukirangamu; ng’omwo omuntu asse omuntu nga tagenderedde mw’anaddukiranga. 12 Bye binaabanga ebifo eby’obuddukiro okwewala omuwoolezi w’eggwanga[a], omuntu ateeberezebwa okuba omutemu alemenga okuttibwa nga tasoose kuwozesebwa mu maaso g’ekibiina. 13 Ebibuga ebyo omukaaga bye mugenda okuwaayo bye binaabanga ebibuga byammwe eby’obuddukiro. 14 Mugenda kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olw’ebuvanjuba olwa Yoludaani, n’ebibuga bisatu mu Kanani, okubeeranga ebibuga eby’obuddukiro. 15 Abaana ba Isirayiri n’abagenyi bammwe, n’abagwira abanaabeeranga mu mmwe, mwenna munaddukiranga mu bibuga ebyo omukaaga. Kwe kugamba nti omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde anaddukiranga omwo.’

16 “ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 17 Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala. 18 Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala. 19 Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga. 20 Omuntu bw’anaabangako ekiruyi ku munne n’amufumita ng’akigenderedde, olw’obukyayi, oba n’amwekwekerera n’amukasuukirira ekintu ne kimukuba ne kimutta, 21 oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.

22 “ ‘Singa omuntu afumita munne mangwago, gw’atalinaako bulabe, oba n’akasuka ekintu nga tagenderedde ne kimukuba, 23 oba n’ayiringisa ejjinja, eriyinza okutta omuntu, ne limugwako nga tamulabye, n’afa; olwokubanga teyali mulabe we, era nga yali tagenderedde kumulumya; 24 kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali. 25 Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.

26 “ ‘Naye omussi oyo bwe kanaamutandanga n’afulumako mu kibuga kye eky’obuddukiro mwe yaddukira, 27 omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu. 28 Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.

Amateeka ku Bujulizi n’Okununula

29 “ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga. 30 Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.

31 “ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.

32 “ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.

33 “ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo. 34 Temwonoonanga nsi mwe mubeera nange mwe mbeera, kubanga Nze, Mukama Katonda, mbeera wakati mu baana ba Isirayiri.’ ”

Footnotes:

  1. 35:12 Omuwoolezi w’eggwanga Yabanga waaluganda wakumpi ddala.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes