Add parallel Print Page Options

21 (A)Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”

22 Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter