Add parallel Print Page Options

24 (A)Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. (B)Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, n’alagula nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
(C)okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
    alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:

“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
    ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!

(D)“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
    ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
    ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
(E)Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
    ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
    obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

(F)“Katonda ye yabaggya mu Misiri
    balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
    ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
    ne babalasa n’obusaale bwabwe.
(G)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
    ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?

“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
    n’oyo akukolimira akolimirwenga!”

10 (H)Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 (I)Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12 (J)Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 (K)‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’ 14 (L)Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”

Okulagula kwa Balamu Okwokuna

15 N’alagula bw’ati nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,
    aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo
alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.

17 (M)“Mmulaba, naye si kaakano;
    mmutunuulira, naye tali kumpi.
Emmunyeenye eriva ewa Yakobo;
    omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri.
Alibetenta Mowaabu,
    obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 (N)Edomu[a] aliwangulwa;
    Seyiri, omulabe we, aliwangulwa,
    naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 (O)Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo
    n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”

Okulagula kwa Balamu Okusembayo

20 (P)Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,

“Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga,
    naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”

21 (Q)N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:

“Ekifo kyo w’obeera wagumu,
    ekisu kyo kiri mu lwazi
22 (R)naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa
    Asuli bw’alibatwala mu busibe.”

23 Ate n’alagula nti,

“Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24     (S)Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;
birifufuggaza Asuli ne Eberi[b],
    naye nabyo birizikirira.”

25 (T)Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.

Footnotes

  1. 24:18 Edomu Abayedomu bazzukulu ba Esawu.
  2. 24:24 Eberi ye jjajja w’Abaebbulaniya (1By 1:25-27).

24 Now when Balaam saw that it pleased the Lord to bless Israel,(A) he did not resort to divination(B) as at other times, but turned his face toward the wilderness.(C) When Balaam looked out and saw Israel encamped tribe by tribe, the Spirit of God came on him(D) and he spoke his message:

“The prophecy of Balaam son of Beor,
    the prophecy of one whose eye sees clearly,(E)
the prophecy of one who hears the words of God,(F)
    who sees a vision from the Almighty,[a](G)
    who falls prostrate, and whose eyes are opened:

“How beautiful are your tents,(H) Jacob,
    your dwelling places, Israel!

“Like valleys they spread out,
    like gardens beside a river,(I)
like aloes(J) planted by the Lord,
    like cedars beside the waters.(K)
Water will flow from their buckets;
    their seed will have abundant water.

“Their king will be greater than Agag;(L)
    their kingdom will be exalted.(M)

“God brought them out of Egypt;
    they have the strength of a wild ox.
They devour hostile nations
    and break their bones in pieces;(N)
    with their arrows they pierce them.(O)
Like a lion they crouch and lie down,
    like a lioness(P)—who dares to rouse them?

“May those who bless you be blessed(Q)
    and those who curse you be cursed!”(R)

10 Then Balak’s anger burned(S) against Balaam. He struck his hands together(T) and said to him, “I summoned you to curse my enemies,(U) but you have blessed them(V) these three times.(W) 11 Now leave at once and go home!(X) I said I would reward you handsomely,(Y) but the Lord has kept you from being rewarded.”

12 Balaam answered Balak, “Did I not tell the messengers you sent me,(Z) 13 ‘Even if Balak gave me all the silver and gold in his palace, I could not do anything of my own accord, good or bad, to go beyond the command of the Lord(AA)—and I must say only what the Lord says’?(AB) 14 Now I am going back to my people, but come, let me warn you of what this people will do to your people in days to come.”(AC)

Balaam’s Fourth Message

15 Then he spoke his message:

“The prophecy of Balaam son of Beor,
    the prophecy of one whose eye sees clearly,
16 the prophecy of one who hears the words(AD) of God,
    who has knowledge from the Most High,(AE)
who sees a vision from the Almighty,
    who falls prostrate, and whose eyes are opened:

17 “I see him, but not now;
    I behold him, but not near.(AF)
A star will come out of Jacob;(AG)
    a scepter will rise out of Israel.(AH)
He will crush the foreheads of Moab,(AI)
    the skulls[b](AJ) of[c] all the people of Sheth.[d]
18 Edom(AK) will be conquered;
    Seir,(AL) his enemy, will be conquered,(AM)
    but Israel(AN) will grow strong.
19 A ruler will come out of Jacob(AO)
    and destroy the survivors of the city.”

Balaam’s Fifth Message

20 Then Balaam saw Amalek(AP) and spoke his message:

“Amalek was first among the nations,
    but their end will be utter destruction.”(AQ)

Balaam’s Sixth Message

21 Then he saw the Kenites(AR) and spoke his message:

“Your dwelling place is secure,(AS)
    your nest is set in a rock;
22 yet you Kenites will be destroyed
    when Ashur(AT) takes you captive.”

Balaam’s Seventh Message

23 Then he spoke his message:

“Alas! Who can live when God does this?[e]
24     Ships will come from the shores of Cyprus;(AU)
they will subdue Ashur(AV) and Eber,(AW)
    but they too will come to ruin.(AX)

25 Then Balaam(AY) got up and returned home, and Balak went his own way.

Footnotes

  1. Numbers 24:4 Hebrew Shaddai; also in verse 16
  2. Numbers 24:17 Samaritan Pentateuch (see also Jer. 48:45); the meaning of the word in the Masoretic Text is uncertain.
  3. Numbers 24:17 Or possibly Moab, / batter
  4. Numbers 24:17 Or all the noisy boasters
  5. Numbers 24:23 Masoretic Text; with a different word division of the Hebrew The people from the islands will gather from the north.